Jeremiah 5:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Boogedde bya bulimba ku Mukama, ne bagamba nti: “Ye si kantu, tewali kabi kagenda kutujjira; tetuliraba kitala, yadde enjala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Boogedde eby’obulimba ku Mukama ne bagamba nti, “Talina kyajja kukola, tewali kabi kanaatugwako, era tetujja kulaba wadde kitala oba kyeya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Beegaanyi Mukama ne boogera nti, ‘Si ye; so obubi tebulitujjira; so tetuliraba kitala newakubadde enjala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Boogedde eby'obulimba ku Mukama, ne bagamba nti: “Taliiko ky'anaakola. Tewali kabi kanaatutuukako. Tetulituukibwako lutalo, wadde enjala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Beegaanyi Mukama ne boogera nti Si ye; so obubi tebulitujjira; so tetuliraba kitala ewakubadde enjala: