Jeremiah 5:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno Omukama Katonda w'Amagye kino ky'agamba: “Olw'okubanga boogedde ebigambo bino, ebigambo byange nzija kubifuula muliro mu kamwa ko, bo abantu babe enku omuliro be gusenkenya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda ow’Eggye nti, “Kubanga abantu boogedde ebigambo bino, ndifuula ekigambo kyange mu kamwa kammwe okuba ng’omuliro, n’abantu bano okuba enku era omuliro gubookye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda ow'eggye kyava ayogera nti, “Kubanga boogedde ekigambo ekyo, laba, ndifuula ebigambo byange mu kamwa ko okuba omuliro n'abantu bano okuba enku, era gulibookya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda Nnannyinimagye kyava agamba nti: “Nga bwe boogedde bwe batyo, ndifuula ebigambo byange omuliro mu kamwa ko. Abantu bano baliba ng'enku, omuliro ogwo ne gubookya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda ow'egye kyava ayogera nti Kubanga mwogera ekigambo ekyo, laba, ndifuula ebigambo byange mu kamwa ko okuba omuliro n'abantu bano kuba enku, era gulibookya.