Jeremiah 5:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe ennyumba ya Yisirayeli,” Omukama y'agamba, “mbaleetera eggwanga ery'ewala, eggwanga eggundiivu, eggwanga ery'edda, eggwanga ery'olulimi lw'otomanyi; eryogera by'ototegeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, mbaleetera eggwanga eriva ewala, ggwe ennyumba ya Isirayiri,” bw’ayogera Mukama. Ensi eyaguma ey’edda, abantu ab’olulimi lwe mutamanyi aboogera bye mutategeera
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ndireeta ku mmwe eggwanga eririva ewala, mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama, ggwanga lya maanyi, ggwanga lya dda, eggwanga ly'otomanyiiko lulimi, so totegeera bye boogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndireeta ab'eggwanga ery'ewala, ne libalumba mmwe Abayisirayeli. Abo be b'eggwanga ery'amaanyi ery'edda, era ery'olulimi lwe mutamanyi, era nga temutegeera bye boogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndireeta ku mmwe eggwaga eririva ewala, mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama: ggwanga lya maanyi, ggwanga lya dda, eggwanga ly'otomanyiiko olulimi lwalyo so totegeera bye boogera.