Jeremiah 5:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bwe balibuuza nti: ‘Lwaki Omukama Katonda waffe atukoze bino byonna?’ Obaddangamu nti: ‘Nga mmwe bwe mwandekawo ne muweereza mu nsi yammwe balubaale abagwira, bwe mutyo bwe muliweereza abagwira mu nsi eteri yammwe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era abantu bammwe bwe bagamba nti, ‘Lwaki Katonda waffe atukoze ebintu bino byonna?’ Onoobagamba nti, ‘Nga bwe mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala mu nsi yammwe, mujja kuweereza bakatonda abagwira mu nsi eteri yammwe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka abantu bwe balibabuuza nti, ‘Mukama Katonda waffe kiki ekimukozezza ffe ebyo byonna?’ Kale n'olyoka obagamba nti, ‘Nga mmwe bwe munvuddeko ne muweerereza bakatonda ba bannamawanga mu nsi yammwe, bwe mutyo bwe munaaweererezanga bannamawanga mu nsi eteri yammwe.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era abantu bwe balibuuza nti: ‘Lwaki Mukama Katonda waffe yatukola ebyo byonna?’ Mulibaddamu nti: ‘Nga mmwe bwe mumuvuddeko, ne muweereza balubaale abagwira mu ggwanga lyammwe, bwe mutyo bwe munaaweerezanga bannamawanga mu nsi eteri yammwe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka bwe mulyogera nti Mukama Katonda waffe kiki ekimukozezza ffe ebyo byonna? kale n'olyoka obagamba nti Nga mmwe bwe munvuddeko ne muweerereza bakatonda bannaggwanga mu nsi yammwe, bwe mutyo bwe munaaweererezanga bannaggwanga mu nsi eteri yammwe.