Jeremiah 5:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wulira ggwe eggwanga essiru eritalina mutima, abalina amaaso naye abatalaba, abalina amatu naye abatawulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wulira kino, mmwe abantu abasirusiru abatalina kutegeera, abalina amaaso naye nga tebalaba, abalina amatu naye nga tebawulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Muwulire nno kino, mmwe abantu abasirusiru era abatalina kutegeera; abalina amaaso naye temulaba; abalina amatu naye temuwulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Muwulire mmwe abantu abasirusiru, era abatategeera, abalina amaaso ne mutalaba, abalina amatu ne mutawulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwulire nno kino, mmwe abantu abasirusiru era abatalina kutegeera; abalina amaaso ne mutalaba; abalina amatu ne mutawulira: