Jeremiah 5:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze temuntiirako ddala,” Omukama y'agamba, “temwandikankanye mu maaso gange? Nassa omusenyu okukomera ennyanja, omuziziko ogw'emirembe gyonna gw'eteribuuka; amayengo gaayo geesunda, naye tegasobola; gayinza okuwuluguma, naye tegagusukka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temuntya?” bw’ayogera Mukama; “temunkankanira? Nateeka omusenyu okuba ensalo y’ennyanja, olukomera olutaliggwaawo, lwetasobola kuvvuunuka; wadde ng’amayengo galukubaakuba, tegasobola kuluwaguza, gayinza okuwuluguma, naye tegasobola kuluyitako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temuntya? bw'ayogera Mukama; Temuunkankanira? N'ateeka omusenyu okuba ensalo y'ennyanja olw'ekiragiro ekitaliggwaawo, n'okuyinza n'eteyinza kugusukkako; era amayengo gaayo ne bwe geesuukunda, naye tegayinza kuwagula; ne bwe gawuuma, naye tegayinza kugusukkako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama, lwaki temuntya? Lwaki temukankana mu maaso gange? Nateekawo omusenyu okuba ensalo y'ennyanja, ensalo ey'olubeerera, ennyanja gy'eteyinza kubuuka. Amayengo gaayo ne bwe geesuukunda gatya, tegayinza kuwagula. Ne bwe gawuuma gatya, tegayinza kugisukka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
temuntya? bw'ayogera Mukama: temuukankanire kujja kwange, eyateeka omusenyu okuba ensalo y'ennyanja olw'ekiragiro ekitaliggwaawo, n'okuyinza n'eteyinza kugusukkako? era amayengo gaayo ne bwe geesuukunda, naye tegayinza kuwangula; ne bwe gawuuma, naye tegayinza kugusukkako.