Jeremiah 5:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebagambyeko mu mitima gyabwe nti: ‘Tutye ku Mukama Katonda waffe atuwa enkuba eya Ddumbi ne Ttoggo mu biseera byayo, n'atuteerawo wiiki enkakafu ez'amakungula.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abateekuba mu kifuba kugamba nti, ‘Tutye Mukama Katonda waffe agaba enkuba, eya ddumbi n’eya ttoggo, mu ntuuko zaayo; atugerekera ssabbiiti ez’okukunguliramu.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So teboogera mu mutima gwabwe nti, ‘Tutye nno Mukama Katonda waffe awa enkuba, eya ddumbi ne ttoggo, mu ntuuko zaayo; atuterekera Ssabbiiti ez'ebikungulwa ezaateekebwawo.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temulowoozaako nti: ‘Tutye Mukama Katonda waffe atonnyesa enkuba mu biseera byayo, era ateekawo ebiseera eby'amakungula buli mwaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So teboogera mu mutima gwabwe nti Tutye nno Mukama Katonda waffe awa enkuba, ddumbi ne ttoggo, mu ntuuko zaayo; atuterekera sabbiiti ez'ebikungulwa ezaateekebwawo.