Jeremiah 5:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu bantu bange mulimu ababi, abateega ng'abatega ennyonyi, nga batega emitego okukwasa abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kubanga abasajja abakozi b’ebibi basangibwa mu bantu bange; abagalamira ne balindirira ng’abasajja abatezi b’obunyonyi. Batega abantu omutego.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abasajja ababi baasangibwa mu bantu bange; balabirira ng'abatezi b'ennyonyi bwe batega; batega omutego, era bakwasa bantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu bantu bange mulimu abakola ebibi. Bateega ng'abatezi b'ebinyonyi. Bo omutego bagutega kukwasa bantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu bantu bange mulabika abasajja ababi: balabirira ng'abatezi b'ennyonyi bwe batega; batega omutego, bakwasa bantu.