Jeremiah 5:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagezze, banyiridde, ebikolwa byabwe ebibi biyitiridde; tebalamula mu bwenkanya kutaasa nsonga za mulekwa, tebataasa nsonga ya mwavu
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibi kyabwe tekiriiko kkomo, tebasala misango mu bwenkanya, abatawolereza bataliiko ba kitaabwe okubayamba basinge emisango, era abatafaayo ku ddembe lya bakateeyamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bagezze, banyiridde, weewaawo, basukkiriza ebikolwa eby'obubi; tebasala misango mu mazima, amazima g'oyo atalina kitaawe, balyoke balabe omukisa; so tebasalira baavu musango gwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nabo bwe bajjuza amayumba gaabwe bye banyaze. Kyebavudde bafuuka ab'obuyinza era abagagga. Bagezze era banyiridde. Ebikolwa byabwe ebibi tebiriiko kkomo. Tebawolereza batalina bakitaabwe kufuna byabwe, wadde okutaasa eby'abaavu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bagezze, banyiridde: weewaawo, basukkiriza ebikolwa eby'obubi: tebalowooza nsonga, ensonga y'atalina kitaawe, balyoke balabe omukisa; so tebasalira baavu musango gwabwe.