Jeremiah 5:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalanzi balanga bya bulimba, bakabona bafuga nga bwe beeyagalidde; n'abantu bange ekyo kye baagala. Naye mulikola mutya mu luvannyuma?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba, bakabona bafugisa buyinza bwabwe ate abantu bange bwe batyo bwe bakyagala. Naye ku nkomerero munaakola mutya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bannabbi balanga bya bulimba, ne bakabona bafuga nga bwe baagala; n'abantu bange baagala kibeere bwe kityo, naye mulikola mutya nga enkomerero etuuse?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abalanzi balagula bya bulimba, ne bakabona bafuga ng'abalanzi bwe babalagira, n'abantu bange ne batakiwakanya. Naye kiki kye mulikola ku nkomerero?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bannabbi balagula bya bulimba, ne bakabona bafuga ku lw'abo; n'abantu bange baagala kibeere bwe kityo: era mulikola ki ku nkomerero y'ebyo?