Jeremiah 5:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba nti: “Bano banaku bunaku, basiru; kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama, yadde amateeka ga Katonda waabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne njogera nti, “Bano baavu abasirusiru. Kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama, amateeka ga Katonda waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne njogera nti, “Mazima bano baavu, basirusiru; kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama newakubadde amateeka ga Katonda waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nalowooza nti: “Bano abaavu era abasirusiru be bokka abatamanyi ebyo Mukama by'ayagala, era Katonda waabwe by'alagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne njogera nti Mazima bano baavu: basirusiru; kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama newakubadde omusango gwa Katonda waabwe: