Jeremiah 5:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empologoma ey'omu kibira kyeriva ebalumba, omusege gw'omu ddungu gulibavunjaga, engo erikuumirira kumpi n'ebibuga byabwe, buli afuluma alitaagulwataagulwa, kubanga ebibi byabwe bingi, n'obujeemu bwabwe bunyinyittidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo empologoma eriva mu kibira n’ebalya, n’omusege ogw’omu ddungu gulibasaanyaawo. Engo erikuumira okumpi n’ebibuga byabwe, buli muntu abifuluma ayuzibweyuzibwe; Kubanga ebibi byabwe bingi, okudda ennyuma kunene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Empologoma eva mu kibira kyeriva ebatta, omusege ogw'ekiro gulibanyaga, engo eriteegera mu bibuga byabwe, buli muntu ava omwo anaataagulwataagulwanga; kubanga okusobya kwabwe kungi n'okuseeseetuka kwabwe kweyongedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Empologoma eziva mu kibira kyeziriva zibatta, emisege egiva mu ddungu ne gibazikiriza. Engo ziriteegera okumpi n'ebibuga byabwe ne zitaagulataagula buli abifulumamu, kubanga ebibi byabwe bingi, era bavudde nnyo ku Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Empologoma eva mu kibira kyeriva ebatta,omusege ogw'ekiro gulibanyaga, engo eriteegera mu bibuga byabwe, buli muntu ava omwo anaataagulwataagulwanga: kubanga okusobya kwabwe kungi n'okuseeseetuka kwabwe kweyongedde.