Jeremiah 5:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Lwaki nandikusaasidde? Abaana bo banvuddeko, ne balayira balubaale abatali katonda. Nabakkusa, naye bo ne bakola obwenzi, ne balinnimukira mu nnyumba za bamalaaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mbasonyiwe ntya? Abaana bammwe banvuddeko, ne balayiririra bakatonda abatali bakatonda. Bwe nabaliisa ne bakkuta, badda mu kwenda, ne beekuŋŋaanya ku nnyumba z’abenzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Nnyinza ntya okubasonyiwa? Abaana bammwe banvuddeko, ne balayira abo abatali bakatonda. Bwe nnabaliisa okukkuta ne bayenda, ne bakuŋŋaanira ku nnyumba z'abakazi ab'enzi nga bali mu bibinja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Nnyinza ntya okubasonyiwa? Abaana bammwe banvuddeko, ne balayira abo abatali Katonda. Nabawa buli kye beetaaga, naye ne bataba beesigwa. Ne bakuŋŋaaniranga mu nnyumba za bamalaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnyinza ntya okukusonyiwa? abaana bo banvuddeko, ne balayira abo abatali bakatonda: bwe nabaliisa okukkuta ne bayenda, ne bakuŋŋaanira ku nnyumba z'abakazi ab'enzi ebibiina.