Jeremiah 5:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnyinza obutababonereza olw'ebikolwa bino?” Omukama y'agamba, “nnyinza obutawoolera ggwanga ku bantu nga bano?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo? bw’ayogera Mukama, Lwaki siwoolera ggwanga ku nsi efaanana bw’etyo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Siribabonereza olw'ebyo?” Bw'ayogera Mukama, “era siriwalana ggwanga ku ggwanga erifaanana bwe lityo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndirema ntya okubabonereza olw'ekyo, n'okumalira ekiruyi ku ggwanga eriri ng'eryo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Siribonereza olw'ebyo? bw'ayogera Mukama: era emmeeme yange teriwalana ggwanga ku ggwanga erifaanana bwe lityo?