Jeremiah 50:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nnyammwe aliswala nnyo; oyo eyabazaala ng'alisonyiwala! Y'alisembayo mu mawanga, amatongo, ensi enkalu, eddungu essa!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nnyammwe alikwatibwa ensonyi; oyo eyakuzaala aliswazibwa. Aliba ensi esemberayo ddala, ensiko, ensi enkalu, eddungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nnyammwe alikwatibwa ensonyi nnyingi nnyo; eyabazaala aliswala. Laba ye aliba ow'enkomerero mu mawanga, olukoola, ensi enkalu, ey'eddungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekibuga kyammwe ekikulu kiritoowazibwa. Eggwanga lyammwe lye lirisembayo mu mawanga gonna. Lirifuuka olukoola, ensi enkalu ey'eddungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nnyammwe alikwatibwa ensonyi nnyingi nnyo; eyabazaala aliswala: laba, aliba wa nkomerero mu mawanga, olukoola, ensi enkalu, n'eddungu.