Jeremiah 50:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'obusungu bw'Omukama talisengwamu, aliba ddungu jjereere. Buli aliyita ku Babiloni aliwuniikirira n'afuuwa ekiwa olw'ebiwundu bye byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’obusungu bwa Mukama Katonda tajja kubeeramu bantu, naye alisigala matongo. Bonna abayita e Babulooni balyewuunya batye era bakisooze olw’ebiwundu bye byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'obusungu bwa Mukama, kyeriva erema okutuulwamu, naye erirekerwawo ddala; buli anaayitanga ku Babbulooni, anaasamaaliriranga n'asooza olw'ebibonoobono byakyo byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'obusungu bwange, ensi yammwe teebeerengamu muntu n'omu. Erirekebwa awo matongo, era bonna abanaayitanga mu Babilooni, banaasamaaliriranga ne beewuunya okubonaabona kwakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'obusungu bwa Mukama kyeriva erema okutuulwamu, naye erirekerwawo ddala: buli ayita ku Babulooni alisamaalirira n'asooza ebibonoobono byakyo byonna.