Jeremiah 50:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutale okwetooloola Babiloni, mwenna abawesi b'omusaale. Mukirase, temusaasira busaale, kubanga kyakola ekibi ew'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Musimbe ennyiriri okwetooloola Babulooni, mwenna abanaanuula omutego. Mumulase! Temulekaawo kasaale n’akamu, kubanga yajeemera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musimbe ennyiriri okulwana ne Babbulooni enjuyi zonna, mmwe mwenna abanaanuula omutego; mukirase, temusaasira busaale, kubanga kyayonoona Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe mwenna abalasi b'obusaale, mutale okulwanyisa Babilooni, mukizikirize. Mukirase obusaale bwammwe bwonna, kubanga kyakola ekibi mu maaso ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musimbe ennyiriri okulwana ne Babulooni enjuyi zonna, mmwe mwenna abanaanuula omutego; mukirase, temusaasira busaale: kubanga kyayonoona Mukama.