Jeremiah 50:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukileekaanire ku njuyi zonna. Kijeemulukuse, emisingi gyakyo gigudde; bbugwe waakyo ayabiziddwa. Kubanga kuno kwe kuwoolera eggwanga olw'Omukama, mukiwoolereko eggwanga; mukikole nga bwe kyakola abalala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mumukube olube ku buli ludda. Ajeemulukuse, eminaala gye gigwa, n’ebisenge bye bimenyeddwa. Kubanga kuno kwe kwesasuza kwa Mukama Katonda, mumwesasuzeeko; mumukole nga bw’akoze abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukireekaanireko enjuyi zonna; kijeemulukuse; amakomera gaakyo gagudde, babbugwe baakyo basuuliddwa, kubanga lye ggwanga Mukama ly'awalana; mukiwalaneko eggwanga; nga bwe kyakolanga, nammwe mukikole bwe mutyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukireekaanireko ku buli ludda. Kaakano kijeemulukuse. Ebigo byakyo biyiise, n'ebisenge byakyo bimenyeddwa, kubanga mpoolera eggwanga ku Bakaludaaya. Muwoolere eggwanga ku bo. Mubakoleko bye baakolanga ku balala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukireekaanireko enjuyi zonna; kijeemulukuse; amakomera gaakyo gagudde, babbugwe baakyo basuuliddwa: kubanga lye ggwanga Mukama ly'awalana; mukiwalaneko eggwanga; nga bwe kyakolanga mukikole bwe mutyo.