Jeremiah 50:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukutule ku Babiloni oyo asiga, n'oyo akutte najjolo mu budde obw'amakungula. Olw'ekitala ky'omunyazi buli omu adde mu bantu be; buli omu adduke ng'adda mu nsi yaaboobwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asiga mumuggye mu Babulooni, n’omukunguzi oyo akwata ekiwabyo mumuggye mu makungula. Olw’ekitala ky’omujoozi, leka buli omu addukire mu nsi y’ewaabwe, buli muntu adde eri abantu be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumaleemu mu Babbulooni asiga ensigo, n'oyo akwata ekiwabyo mu biro eby'okukunguliramu; olw'ekitala ky'omujoozi, buli muntu alidda mu bantu b'ewaabwe, era baliddukira buli muntu mu nsi y'ewaabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Babilooni mumaleemu buli asiga ensigo, ne buli akutte ekiwabyo mu budde obw'amakungula. Buli mugwira abeeramu alitya eggye eddumbi, n'addayo ewaabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumaleewo asiga mu Babulooni, n'oyo akwata ekiwabyo mu biro eby'okukunguliramu: olw'okutya ekitala ekijooga balikyukira buli muntu eri abantu b'ewaabwe, era baliddukira buli muntu mu nsi y'ewaabwe.