Jeremiah 50:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yisirayeli, ndiga ezibaamye, ezigobeddwa empologoma.” Kabaka w'e Assuri ye yasooka okumulya, oluvannyuma ne Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni amubwebwenye amagumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Isirayiri kisibo kya ndiga ezisaasaanye, empologoma kye zigobye. Eyasooka okumulya yali kabaka wa Bwasuli; eyasembayo okumenya amagumba ge yali Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Isiraeri ndiga ewabye; egobeddwa empologoma. Kabaka w'e Bwasuli ye yasooka okumukavvula; ate ne kaakano oluvannyuma Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni amenye amagumba ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abayisirayeli bali ng'endiga ezigobeddwa empologoma ne zibuna emiwabo. Kabaka w'Assiriya ye yasooka okubakavvula, ate ne Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya n'abaasaayasa amagumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri ndiga ewabye; empologoma zimugobye kabaka w’e Bwasuli ye yasooka okumulya; ne Nebukadduleeza ono kabaka w’e Babulooni ye w'enkomerero, amenye emagumba ge.