Jeremiah 50:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kyava agamba nti: “Nzuuno, ŋŋenda okubonereza kabaka w'e Babiloni n'ensi ye nga bwe nabonereza kabaka w'e Assuri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’ensi ye nga bwe nabonereza kabaka w’e Bwasuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olw'ekyo bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, ‘Laba, ndibonereza kabaka w'e Babbulooni n'ensi ye nga bwe nnabonereza kabaka w'e Bwasuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama, Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, kyenva ŋŋamba nti: ndibonereza Kabaka Nebukadunezzari n'ensi ye, nga bwe nabonereza kabaka w'Assiriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibonereza kabaka w’e Babulooni n'ensi ye nga bwe nnabonereza kabaka w’e Bwasuli.