Jeremiah 50:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ezo ne mu budde obwo, Omukama y'agamba, balinoonya ensobi ya Yisirayeli, naye teribaawo, n'ekibi kya Yuda, nakyo tekirizuuka, kubanga bakaawonawo be ndiba ntalizza ndibasaasira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “omusango ku Isirayiri gulinoonyezebwa, naye tegulibaawo, era n’ebibi bya Yuda birinoonyezebwa, naye tewaliba na kimu, kubanga ndisonyiwa abo bendeseewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, obutali butuukirivu bwa Isiraeri balibunoonya, naye nga tewali, n'ebibi bya Yuda, so tebirirabika, kubanga ndisonyiwa abo be ndireka okuba ekitundu ekifisseewo.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekiseera ekyo bwe kirituuka, tewaliba kwonoona mu Yisirayeli, era tewaliba bibi mu Buyudaaya, kubanga ndisonyiwa abo be nditalizaawo okuba abalamu. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, obutali butuukirivu bwa Isiraeri balibunoonya so nga tewali; n'ebibi bya Yuda, so tebirirabika: kubanga ndisonyiwa abo be ndireka okuba ekitundu ekifisseewo.