Jeremiah 50:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Lumba ensi y'e Meratayimu, n'abasula e Pekodi; wondera, tta, obasaanyizeewo ddala, Omukama y'agamba; byonna bikole nga bwe nkulagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mulumbe ensi ye Merasayimu n’abo abali mu Pekodi. Mubagoberere mubatte, mubazikiririze ddala,” bw’ayogera Mukama Katonda. “Mukole byonna bye mbalagidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Tabaala ensi y'e Merasayimu, era n'abo abali mu Pekodi. Otte era ozikiririze ddala n'abali emabega waabwe, bw'ayogera Mukama, okole byonna bwe biri bye nnakulagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mulumbe ab'e Meratayimu n'ab'e Pekodi. Mubawondere mubatte, mubazikirize. Mukole byonna bye mbalagira. Nze Mukama, Nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tabaala ensi y'e Merasayimu, gy'oba otabaala, n'abo abali mu Pekodi: otte ozikiririze ddala ennyuma waabwe, bw'ayogera Mukama, okole nga byonna bwe biri bye nnakulagira.