Jeremiah 50:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emenyese etya, n'esesegguka ennyondo y'ensi yonna? Babiloni afuuse atya ekintu eky'entiisa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennyondo y’ensi yonna ng’ekubiddwa n’emenyeka! Babulooni kifuuse matongo mu mawanga!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennyondo ey'ensi zonna ng'etemeddwa ng'emenyese! Babbulooni nga kifuuse ekitiisa mu mawanga!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Babilooni yali nnyondo eyayasaayasanga ensi yonna, kaakati nayo eyasiddwa. Amawanga gonna geekanze olw'ebyo ebiguddewo mu nsi eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennyondo ey'ensi zonna ng'etemeddwa ng'emenyese! Babulooni nga kifuuse amatongo mu mawanga!