Jeremiah 50:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nakutega omutego, Babiloni, ne gukukwasa nga tonnagumanya. Wasangibwa n'okwatibwa, kubanga wasoomooza Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nakutegera omutego, ggwe Babulooni, babagwiikiriza ne babakwata nga tebategedde, baakukwata ne bakuwamba kubanga wawakanya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nakutegera omutego, n'okukwatibwa okwatiddwa, ayi Babbulooni, so tewakimanya; olabise n'okukwatibwa okwatiddwa, kubanga wawakana ne Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe Babilooni eyannwanyisa, okwatiddwa mu mutego gwe nakutega nga totegedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nakutegera omutego, n'okukwatibwa okwatiddwa, ai Babulooni, so tewamanyirira: olabise n'okukwatibwa okwatiddwa, kubanga wawakana ne Mukama.