Jeremiah 50:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yaggulawo etterekero lye, n'aggyayo ebyokulwanyisa by'obusungu bwe. Kubanga Omukama Katonda w'Amagye, alinayo eky'okukola mu nsi y'Abakaludeya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama agguddewo etterekero ly’ebyokulwanyisa bye naggyamu ebyokulwanyisa eby’ekiruyi kye, kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina omulimu ogw’okukola mu nsi y’Abakaludaaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama asumuludde etterekero ly'eby'okulwanyisa bye, era aggyeemu eby'okulwanyisa nga anyiize, kubanga Mukama, Mukama w'eggye, alina omulimu gw'agenda okukola mu nsi ey'Abakaludaaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nziguddewo etterekero ly'ebyokulwanyisa byange, era mbifulumizza nga nsunguwadde, kubanga Nze Mukama, Nnannyinimagye, nnina omulimu gwe ŋŋenda okukola mu nsi y'Abakaludaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama asumuludde etterekero ly'ebyokulwanyisa bye, era aggyeemu ebyokulwanyisa eby'okunyiiga kwe: kubanga Mukama, Mukama w'eggye, alina omulimu gw'agenda okukola mu nsi ey'Abakaludaaya.