Jeremiah 50:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mumulumbe okuva mu buli nsonda, mwabye amawanika ge; mumutuume ntuumu ng'ez'eŋŋano, mumusaanyeewo obutamulekerawo basigalawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mujje mumulumbe mmwe abava mu buli nsonda, mumenye ebyagi eby’emmere y’empeke, mumukuŋŋaanye abe ng’entuumo y’emmere y’empeke. Mumuzikiririze ddala; waleme kusigalawo n’omu ku bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mujje mukirumbe nga muva ku buli ludda, musumulule amawanika gaakyo; mukituume ng'abatuuma entuumu y'eŋŋaano, era mukizikiririze ddala, waleme okubaawo ekintu ekisigala ku kyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mugirumbe nga muva buli ludda, mugguleewo amawanika gaayo gonna. Omunyago mugutuume entuumu ng'ez'eŋŋaano. Muzikirize ensi eyo. Temubaako kintu na kimu kye mulekawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mujje mukirumbe nga muva ku nsalo ekomererayo, musumulule amawanika gaakyo: mukituume nga bifunvu, mukizikiririze ddala: waleme okubaawo ekintu ekisigala ku kyo.