Jeremiah 50:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wulira: Abadduse ne bakaawonawo okuva mu nsi y'e Babiloni balangirira mu Siyoni, okuwoolera eggwanga olw'Omukama Katonda waffe ng'awoolera eggwanga olw'Ekiggwa kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwulire eby’abadduka n’abanoonyi b’obubudamu okuva mu Babulooni nga balangirira mu Sayuuni engeri Mukama Katonda waffe gye yeesasuzza, gye yeesasuzza olwa yeekaalu ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wulira! badduka era ne batoloka okuva mu nsi y'e Babbulooni, okulangirira mu Sayuuni eggwanga Mukama Katonda waffe ly'aliwalana, ly'aliwalana olwa Yeekaalu ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abadduse ne bawona e Babilooni, ba kutuuka mu Siyooni balombojje nga Mukama Katonda waffe, bwe yawoolera eggwanga olw'ebyo ebyakolebwa ku Ssinzizo lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eddoboozi ly'abo abadduka ne bawona mu nsi y'e Babuloomi, okubuulira mu Sayuuni eggwanga Mukama Katonda waffe ly'aliwalana, ly'aliwalana olwa yeekaalu ye.