Jeremiah 50:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kungira Babiloni abalasi b'obusaale, na bonna abamanyi okuweta omusaale. Mumuzingize, temuleka n'omu kutoloka; Mumusasule olw'ebikolwa bye; mumukole nga ye bwe yakola. Kubanga yeekuliza ku Mukama, Omutuukirivu wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Koowoola abalasi b’obusaale balumbe Babulooni, ne bonna abanaanuula omutego. Mumwetooloole yenna; tewaba n’omu awona. Mumusasule olw’ebikolwa bye byonna; mumukole nga bwe yakola banne. Kubanga yanyooma Mukama, Omutukuvu wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muyite abalasi bakuŋŋaane balumbe Babbulooni, abo bonna abanaanuula omutego, musiisire okukyetooloola enjuyi zonna; waleme okuba n'omu aliwona mu kyo. Mwesasuze ng'omulimu gwakyo bwe gwali; era mukikole nga byonna bwe biri bye kyakolanga, bwe mutyo bwe mukikolanga, kubanga kyeyisa n'amalala eri Mukama, eri Omutukuvu owa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukuŋŋaanye bonna abakugu mu kulasa obusaale, balumbe Babilooni. Bakyetooloole, era tebaleka muntu n'omu kudduka. Mwesasuze byonna bye kyakola, kubanga kyanneekulumbalizaako, Nze Omutuukirivu wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muyite abalasi bakuŋŋaane balumbe Babulooni, abo bonna abanaanuula omutego, musiisire okukyolekera enjuyi zonna; waleme okuba aliwona ku kyo: musasule ng'omulimu gwakyo bwe gwali; nga byonna bwe biri bye kyakolanga, bwe mutyo mukikolanga: kubanga yabanga wa malala eri Mukama, eri Omutukuvu owa Isiraeri.