Jeremiah 50:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emambuka evuddeyo eggwanga erimulumba, eririfuula ensi ye amatongo. Tewali aligisulamu, abantu baligidduka era n'ensolo nazo okwo.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eggwanga okuva mu bukiikakkono lijja kukirumba lyonoone ensi y’Abakaludaaya. Tewali muntu alisigalamu; abantu bonna balikiddukamu era n’ensolo zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mu bukiikakkono evuddeyo eggwanga okukitabaala, lirifuula ensi ye amatongo, era tewaliba akibeeramu, byombi abantu n'ensolo, balikiddukamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu bukiikakkono evuddeyo eggwanga okulumba ensi Babilooniya. Lijja kugifuula matongo, eddukibwemu abantu n'ensolo, wabulewo n'omu agibeeramu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu bukiika obwa kkono evaayo eggwanga okukitabaala, erizisa ensi yaakyo, so tewaliba alibeera omwo: badduse, bagenze, abantu era n'ensolo.