Jeremiah 50:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abavubuka baamu baligwa mu nguudo zaakyo, n'abatabaazi baakyo bonna balibakomya ku olwo,” Omukama w'Amagye y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, abavubuka be baligwa mu nguudo; abaserikale be balisirisibwa ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abavubuka baakyo kyebaliva battirwa mu nguudo zaakyo, n'abasajja baakyo bonna abalwanyi balizikirizibwa ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abavubuka baakyo kyebaliva battirwa mu nguudo zaakyo, n'abaserikale baakyo ne battibwa ku lunaku olwo. Nze Mukama, Nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abalenzi baakyo kye baliva bagwira mu nguudo zaakyo, abasajja baakyo bonna abalwanyi balisirisibwa ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama.