Jeremiah 50:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ggwe omwekuza, nkuli bukiika,” Omukama Katonda w'Amagye y'agamba. “Olunaku lukukeereredde, obudde obw'okubonerezebwa kwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba, ndi mulabe wo, ggwe ow’amalala,” bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye, “Kubanga olunaku lwo lutuuse, ekiseera ky’on’obonerezebwamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ndi mulabe wo, ayi ggwe alina amalala, bw'ayogera Mukama, Mukama w'eggye; kubanga olunaku lwo lutuuse, ekiseera mwe nnaakubonerereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe Babilooni, weekulumbaza. Nze Mukama, Nnannyinimagye, kyenva nkulwanyisa. Ekiseera kituuse nkubonereze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndi mulabe wo, ai ggwe alina amalala, bw'ayogera Mukama, Mukama w'eggye: kubanga olunaku lwo lutuuse, ekiseera mwe nnaakujjirira.