Jeremiah 50:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Abantu ba Yisirayeli banyigirizibwa, n'abantu ba Yuda nabo bwe batyo. Bonna abaabawamba babanywezezza, bagaanye okubata.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Abantu ba Isirayiri banyigirizibwa awamu n’abantu ba Yuda; Bonna ababawambye babanywezezza, bagaanye okubata.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda banyigirizibwa, n'abo bonna abaabatwala okuba abasibe babanywezezza, baganyi okubata.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, Nnannyinimagye, agamba nti: “Abantu ba Yisirayeli n'aba Buyudaaya banyigirizibwa. Bonna abaabanyaga babakuuma butiribiri, tebakkiriza kubata kugenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda babajoogera wamu: n'abo bonna abaabatwala okuba abasibe babanywezezza; bagaanyi okubata.