Jeremiah 50:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nno Omununuzi waabwe wa maanyi, Omukama w'Amagye lye linnya lye. Aliwolereza ensonga zaabwe n'amaanyi, ensi agiwe obuweerero, naye bo abali mu Babiloni abatabangule.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omununuzi waabwe w’amaanyi, Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye. Alirwanirira ensonga zaabwe awatali kubuusabuusa, alyoke aleete emirembe mu nsi yaabwe; wabula alireeta okutabukatabuka mu bantu ba Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omununuzi waabwe wa maanyi; Mukama w'eggye lye linnya lye. Ye aliwoleza ddala ensonga yaabwe, alyoke awummuze ensi, era yeeraliikirize abo abali mu Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye alibanunula, wa maanyi. Erinnya lye ye Mukama, Nnannyinimagye. Ye yennyini alibalwanirira, n'aleeta emirembe ku nsi, kyokka alyeraliikiriza ab'e Babilooni.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omununuzi waabwe wa maanyi; Mukama w'eggye lye linnya lye: aliwoleza ddala ensongi yaabwe, alyoke awummuze ensi, era yeeraliikirize abo abali mu Babulooni.