Jeremiah 50:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitala kiri ku mbalaasi ze n'ebigaali bye, ne ku bagwira mu ggye lye, bafuuke bakazi! Ekitala kiri ku mawanika ge, ganyagululwe!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitala kyolekedde embalaasi ze n’amagaali n’abagwira bonna abamubeeramu! Balifuuka banafu ng’abakazi. Ekitala kyolekedde eby’obugagga bwe! Birinyagibwa!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitala kiri ku mbalaasi zaabwe, ne ku magaali gaabwe, ne ku balwanyi bonna abapangise abali wakati mu kyo, baalyoke baafuke ng'abakazi! Ekitala kiri ku bintu byamu eby'obugagga, era birinyagibwa!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muzikirize embalaasi zaakyo, n'amagaali gaakyo. Abaserikale baakyo abapangise, batye ng'abakazi, bafe! Mulumbe ebintu byamu ebyobugagga mubinyage.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekitala kiri ku mbalaasi zaabwe ne ku magaali gaabwe ne ku bantu bonna abaatabulwa abali wakati mu kyo, era balifuuka ng'abakazi; ekitala kiri ku bintu byamu eby'obugagga, era birinyagibwa.