Jeremiah 50:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyeya ku mazzi ge, gakalire! Kubanga eno ensi ya bifaananyi bya balubaale, ebifaananyi bya balubaale babigwiriddeko eddalu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyeya kyolekedde amazzi gaamu! Galikalira. Kubanga ggwanga erisinza ebifaananyi, ebifaananyi ebirigwa eddalu olw’entiisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyanda kikaliza amazzi gaamu, era galikalira! Kubanga nsi ya bifaananyi ebyole, era bibalalusizza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyeya kyake kikalize amazzi gaamu, kubanga abaamu basinza ebitaliimu nsa, era bibalalusizza!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekyanda kiri ku mazzi gaamu, era galikalira: kubanga nsi ya bifaananyi byole, era balalukidde esanamu.