Jeremiah 50:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu nnaku ezo, mu budde obwo,” Omukama y'agamba, “abantu ba Yisirayeli balidda wamu n'abantu ba Yuda, balijja eno nga bakaaba bwe batambula, nga banoonya Omukama Katonda waabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo,” bw’ayogera Mukama, “abantu ba Isirayiri awamu n’abantu ba Yuda balikaaba amaziga nga banoonya Mukama Katonda waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda; balijjira wamu; nga bakaaba amaziga, era balinoonya Mukama Katonda waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abantu ba Yisirayeli n'aba Buyudaaya balijja nga bakaaba amaziga, nga banoonya Nze Katonda waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, abaana ba Isiraeri balijja, bo n'abaana ba Yuda wamu; balikwata ekkubo lyabwe nga bakaaba amaziga, era balinoonya Mukama Katonda waabwe.