Jeremiah 50:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga Katonda bwe yazikiriza Sodoma ne Gomorra n'emiriraano gyabyo, Omukama y'ayogera, teriba muntu asulamu, teriba n'omu asengamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda nga bwe yazikiriza Sodomu ne Ggomola n’ebibuga ebiriraanyeewo,” bw’ayogera Mukama, “bw’atyo bw’alikikola ne mutaba muntu n’omu alikibeeramu; tewaliba n’omu alikisigalamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga Katonda bwe yasuula Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyaliraanawo, bw'ayogera Mukama; bwe kityo tewaabenga muntu anaatuulanga eyo, so tewaabenga mwana wa muntu anaabeeranga omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndizikiriza Babilooni nga bwe nazikiriza Sodoma ne Gomora n'ebibuga ebiriraanyeewo. Tekiriddayo kubeerangamu muntu n'omu. Nze Mukama, Nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga Katonda bwe yasuula Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyaliraanawo bw'ayogera Mukama; bwe kityo tewaabenga muntu anaatuulanga eyo, so tewaabenga mwana wa muntu anaabeeranga omwo.