Jeremiah 50:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu baabo bava emambuka, eggwanga eddene ne bakabaka abangi, bakungiddwa okuva ku nkingi z'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba, eggye liva mu bukiikakkono; ensi ey’amaanyi ne bakabaka bangi, bakuŋŋaana okuva ku nkomerero y’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, eggwanga liva e bukiikakkono; era ekika ekikulu, era bakabaka beetabula okuva ku njuyi z'ensi ezikomererayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu baliva mu ggwanga ery'amaanyi ery'omu bukiikakkono, ne bakabaka bangi baliva mu nsi ez'ewala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, eggwanga liva obukiika obwa kkono; era ekika ekikulu, eri bakabaka bangi abaliyimusibwa okuva ku njuyi z'ensi ezikomererayo.