Jeremiah 50:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka w'e Babiloni amawulire gaabwe gamutuuse, emikono ne gimulagaya, ennaku n'emukwata, okulumwa ng'okw'omukazi azaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka w’e Babulooni afunye amawulire agabafaako, n’emikono gye girebedde. Entiisa emugwiridde, ng’omukazi alumwa okuzaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka w'e Babbulooni awulidde ettutumu lyabwe, emikono gye ne giddirira, obubalagaze bumukutte n'obulumi ng'omukazi alumwa okuzaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kabaka wa Babilooni amawulire gamutuuse, emikono gye ne giragaya! Obubalagaze n'obulumi bimukutte ng'omukazi alumwa okuzaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka w’e Babulooni awulidde ettutumo lyabwe emikono gye ne giddirira: obubalagaze bumukutte n'obulumi ng'omukazi alumwa okuzaala.