Jeremiah 50:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ng'empologoma efubutuka mu bisaka by'oku Yorudani okulaga mu ddundiro eddungi, bwe ndibagobawo mu kabanga bubanga. Ani mulondobe gwe ndissaawo ku lwa kino? Ani kale annenkana? Ani alimpawaabira? Era musumba ki asobola okuŋŋumira?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’empologoma eva mu kibira kya Yoludaani okugenda mu ddundiro eggimu, Babulooni ndimugoba mu nsi ye awatali kutemya kikowe. Ani oyo omulonde gwe nnaawa okukola kino? Ani ali nga nze, era ani ayinza okunsomooza? Era musumba ki ayinza okuyimirirawo okumpakanya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba ng'empologoma bw'efubutuka mu bisaka ebikwafu ebya Yoludaani, n'erumba amalundiro g'endiga ag'amaanyi, bwe ntyo ndikibaddusamu mangu ago, era ndironda gwe ndyagala okubafuga. Kubanga ani afaanana nze? Ani ayinza okumpozesa? Omusumba aluwa ayinza okuyimirira mu maaso gange?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'empologoma bw'efubutuka mu bisaka ebikwafu eby'oku Mugga Yorudaani, n'erumba amalundiro amalungi, nange, Nze Mukama, bwe ndijja ne ngoba amangwago Abakaludaaya mu kibuga kyabwe. Omufuzi gwe ndironda, ye alifuga eggwanga. Ani ayinza okunneegeranyaako? Oba ani aguma okunnwanyisa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, alirinnya ng'empologoma eva ku malala ga Yoludaani, okulumba ekifo eky'amaanyi eky'okubeeramu naye ndikibaddusa mangu ago; eri buli alirondebwa, oyo gwe ndikuza ku kyo: kubanga ani afaanana nze era ani alinteekerawo ekiseera? eri ani omusumba aliyimirira mu maaso gange?