Jeremiah 50:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno muwulire Omukama ky'ateeserezza Babiloni, ne by'alowooleza ensi y'Abakaludeya: ebijuujulu mu ggana balibiwalaawala; amalundiro gaabwe aligazikiririza ddala olw'okubeera bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, wulira Mukama ky’ategekedde Babulooni, ky’ategese okuleeta ku nsi y’Abakaludaaya. Obwana bw’ebisibo byabwe bulitwalibwa, alizikiririza ddala ebisibo byabwe ng’abalanga obujeemu bwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale muwulire okuteesa kwa Mukama kw'ateeseza ku Babbulooni; n'ebyo by'amaliridde okukola ensi ey'Abakaludaaya. Mazima n'abaana abato ab'omu kisibo balikululibwa; mazima ekisibo kiryewuunya olw'ebyo ebikituuseeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale muwulire kye nteesezza okukola ku Babilooni, ne ku bantu baakyo n'abaana baabwe abato: nabo balirumwa, buli omu ne yeesisiwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale muwulire okuteesa kwa Mukama kw'ateeseza ku Babulooni; n'ebyo by'amaliridde eri ensi ey'Abakaludaaya: Tebalirema kubawalula okubaggyayo, abaana abato ab'omu kisibo; talirema kulekesaayo ekifo kyabwe eky'okubeeramu wamu nabo.