Jeremiah 50:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi erikankana bwe baliwulira nga Babiloni awambiddwa, Eddoboozi ly'omulanga gwe liriwulirwa mu mawanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’oluyoogaano lw’okuwambibwa kwa Babulooni, ensi erikankana; okukaaba kwe kuliwulirwa mu mawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'eddoboozi ery'okuwamba Babbulooni ettaka likankana, n'okukaaba kwe kuwuliddwa mu mawanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Babilooni bwe kirigwa, ensi yonna erikankana olw'okwedomola kwakyo! N'emiranga gye balikitemera giriwulirwa wonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'eddoboozi y'okumenya Babulooni ettaka likankana, n'okukaaba kuwuliddwa mu mawanga.