Jeremiah 50:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balibuuza ekkubo erigenda ku Siyoni ne bakyukira gye liri. Balijja ne beesiba ku Mukama mu ndagaano ey'olubeerera eteryerabirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balibuuza ekkubo eridda e Sayuuni era bakyuse obwenyi bwabwe okukitunuulira, nga boogera nti, Mujje twesibe ku Mukama Katonda mu ndagaano ey’emirembe gyonna etegenda kwerabirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balibuuza awali ekkubo erigenda e Sayuuni, n'amaaso gaabwe nga gaakitunulidde, nga boogera nti, ‘Mujje twegatte ne Mukama, mu ndagaano eteriggwaawo eteryerabirwa.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balibuuza awali ekkubo erigenda e Siyooni, ne boolekera eyo, nga bagamba nti: ‘Mujje twegatte ne Mukama, tukole naye endagaano ey'olubeerera etalyerabirwa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balibuuza ebya Sayuuni, amaaso gaabwe nga gatunulayo, nga boogera nti Mujje mwegatte ne Mukama nga mulagaanye endagaano eteriggwaawo eteryerabirwa.