Jeremiah 50:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu bange, ndiga ezibuze; abasumba baazo baziwabizza, ne bazireka okutangatangira mu nsozi. Zitagidde ku nsozi ne ku busozi, ne zeerabira we ziwummulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abantu bange babadde ndiga ezibuze; abasumba baabwe babawabizza ne babatuusa ku kutaataaganira ku nsozi. Baava ku lusozi ne badda ku kasozi ne beerabira ekifo kyabwe eky’okuwummuliramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Abantu bange baabanga nga ndiga ezaabula, abasumba baabwe baabawabya, ne baabakyamiza ku nsozi, baavanga ku lusozi ne bagendanga ku kasozi, beerabidde ekisibo kyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu bange bali ng'endiga, abasumba baazo ze baawabya, ne bazibuliza mu nsozi. Babungeeta okuva ku lusozi okudda ku lulala, ne beerabira n'ewaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bange baabanga ndiga ezaabula: abasumba baabwe baabawabya, baabakyamiza ku nsozi: baavanga ku lusozi ne bagendanga ku kasozi, beerabidde ekifo kyabwe eky'okuwummuliramu.