Jeremiah 50:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abaazisanganga nga beeriira; abalabe baabwe nga bagamba nti: ‘Ffe tetuzzanga musango; mbeera be baakola ekibi eri Omukama, Ekisulo ky'obutuufu, essuubi lya bakitaabwe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli eyabasanganga nga abatulugunya; abalabe baabwe ne bagamba nti, ‘Tetulina musango gwe tuzza, kubanga baajeemera Mukama Katonda, obuddukiro bwabwe obwa nnama ddala, ye Mukama, essuubi lya bakitaabwe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna abaabasanga babalidde, era n'abalabe baabwe ne boogera nti, ‘Tetulina musango, kubanga bo be basobezza Mukama, ensibuko y'obutuukirivu, Mukama, essuubi lya bajjajjaabwe.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balumbibwa bonna ababasanga. Abalabe baabwe bagamba nti: ‘Kye tukoze si kibi, kubanga baasobya mu maaso ga Mukama, bajjajjaabwe gwe beesiganga, era nabo bennyini gwe bandinywereddengako.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna abaabalaba babalidde: n'abalabe baabwe ne boogera nti Tetwonoona kubanga bo basobezza Mukama, omubeera obutuukirivu, Mukama essuubi lya bajjajjaabwe.