Jeremiah 50:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ŋŋenda okusiikuula ndeetere Babiloni ekibinja ky'amawanga amangi okuva mu nsi y'emambuka. Galitala okumulwanyisa; balifuluma eyo ne bamukwata; obusaale bwabwe buli ng'omutabaazi omuzira atadda ngalo nsa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga, laba, ndigolokosa ekibiina ky’amawanga amanene okuva mu nsi ey’obukiikakkono okulumba Babulooni. Baliyimirira mu nnyiriri zaabwe bakirumbe, bakiwambe nga basinzira mu bukiikakkono. Obusaale bwabwe buliba ng’obw’abalwanyi abakugu, abataddira awo ngalo nsa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, nja kusiikuula era ndeete ku Babbulooni ekibinja ky'amawanga ag'amaanyi okuva mu bukiikakkono, era balisimba ennyiriri okulwana nakyo; okuva eyo kiritwalibwa, obusaale bwabwe bulinga omulwanyi omukugu ataddira awo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga nja kusiikuula nsitule ekibinja ky'amawanga ag'amaanyi mu bukiikakkono, bajje balumbe Babilooniya. Balitala okulwanyisa ensi eyo bagiwangule. Bamanyirivu mu kulasa obusaale, era mu kuteeba tebasubwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, ndigolokosa ekibiina ky'amawanga amakulu ne mbatabaaza Babulooni okuva mu nsi ey'obukiika obwa kkono: era balisimba ennyiriri okulwana nakyo; kiriggibwa eyo: obusaale bwabwe buliba ng'obw'omusajja ow'amaanyi omukabakaba; tewaliba alidda obusa.