Jeremiah 51:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Babiloni n'abantu b'omu Lebu-Kamayi nzija kubasiikuulira omuyaga ddekabusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Laba, ndiyimusa omwoyo gw’omuzikiriza alumbe Babulooni n’abantu ba Lebukamaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Laba, ndisikuula omwoyo gw'omuzikiriza ku Babbulooni, ne ku batuula mu Bakaludaaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ndisindika e Babilooni, ne mu Bakaludaaya embuyaga ezikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndireeta ku Babulooni ne ku abo abali mu Lebukamaayi embuyaga ezizikiriza.