Jeremiah 51:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Musongole obusaale, mukwate engabo; Omukama asiikudde omutima gwa bakabaka b'Abamedi, kubanga ky'ateesezza ku Babiloni kya kuzikiriza; kubanga Omukama ajja kuwoolera eggwanga, okuwoolera eggwanga olw'Ekiggwa kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muwagale obusaale, mukwate engabo! Mukama ayungudde bakabaka ab’e Bumeedi, kubanga ekigendererwa kye kuzikiriza Babulooni. Mukama aliwalana eggwanga, aliwalana eggwanga olwa yeekaalu ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwagale obusaale! Musitule engabo! Mukama asiikudde emmeeme za bakabaka b'Abameedi, kubanga okuteesa kwe okukwata ku Babbulooni ku kizikiriza, kuba eryo lye ggwanga Mukama ly'awalana, ly'awalana olwa Yeekaalu ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama akumye omuliro mu bakabaka b'e Mediya, kubanga ayagala okuzikiriza Babilooni. Bw'atyo Mukama bw'anaawoolera eggwanga olw'okuzikirizibwa kw'Essinzizo lye. Abaduumizi b'eggye eddunuzi balagira nti: “Muwagale obusaale bwammwe! Mukwate engabo zammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muzigule obusaale, munyweze engabo: Mukama akubirizza omwoyo gwa bakabaka b'Abameedi; kubanga okuteesa kwe kuli eri Babulooni okukizikiriza: kubanga lye ggwanga Mukama ly'awalana, ly'awalana olwa yeekaalu ye.