Jeremiah 51:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musimbe bendera okwolekeza bbugwe wa Babiloni; mwongere ku bakuumi, musseewo abalabirira; mutegeke okuzinda. Kubanga Omukama aliko kye yateesa era akituukirizza, kye yalangirira ku bantu b'omu Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muyimuse bendera mwolekere bbugwe wa Babulooni! Mwongereko abakuumi, muteekeko abaserikale, mutegeke okulumba mbagirawo! Mukama alituukiriza ekigendererwa bye, ensala ye okwolekera abantu ba Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musimbe ebendera okwolekera bbugwe w'e Babbulooni, munyweze abakuumi, muteekeewo abakuuma, mutegeke abateezi; kubanga Mukama ateesezza n'okukola akoze ebyo bye yayogera ku abo abali mu Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwanike bbendera okulumba ebisenge bya Babilooni. Mutegeke abanaateega!” Mukama atuukirizza bye yagamba okukola ku bantu b'omu Babilooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musimbe ebendera okwolekera bbugwe w'e Babulooni, munyweze abakuumi, muteekeewo abakuuma, mutegeke abateezi: kubanga Mukama ateesezza n'okukola akoze ebyo bye yayogera ku abo abali mu Babulooni.